1 Timothy 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nasaasirwa olwa kino, nti Yezu Kristu asookere mu nze okwoleka obugumiikiriza bwe bwonna, mbeere ekyokulabirako eri abo abaali ab'okumukkiriza bafune obulamu obutaggwaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda kyeyava ansaasira, Kristo Yesu alyoke ayoleseze mu nze, omwonoonyi asingira ddala okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbeere ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza ne bafuna obulamu obutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kyennava nsaasirwanti mu nze asinga obubi mu boonoonyi, Yesu Kristo mwayinza okulabisiza okugumiikiriza kwe kwonna, okunaabeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw'obulamu obutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Katonda yankwatirwa ekisa: mu nze asingira ddala okuba omwonoonyi, Kristo Yesu mw'aba alagira okugumiikiriza kwe okutakoma, era mbe ekyokulabirako eri abo abalimukkiriza, ne bafuna obulamu obutaggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow'olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw'obulamu obutaggwaawo.