1 Timothy 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ya Timotewo, mutabani wange ddala mu kukkiriza: Eneema, okusaasira n'ekisa okuva ewa Katonda Taata ne Kristu Yezu Mukama waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nkuwandiikira ggwe Timoseewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Nkwagaliza ekisa n’okusaasira, n’emirembe, ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri Timoseewo omwana wange ddala olw'okukkiriza. Ekisa, okusaasira, n'emirembe bibenga gy'oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nkuwandiikira ggwe Timoteewo, omwana wange ddala mu kukkiriza. Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe bakukwatirwe ekisa, bakusaasire, era bakuwe emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eri Timoseewo omwana wange ddala olw'okukkiriza: ekisa, okusaasira, emirembe bibenga gy'oli ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe.