1 Timothy 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mu abo nga mwe muli ne Yimenewo ne Alekisanduro, be nawaayo eri Sitaani bayige obutavuma Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda be n’awaayo eri Setaani bayige obutavumanga Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu abo mwe muli Kumenayo ne Alegezanda, be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu abo mwe muli Yimenaayo ne Alekizanda be nawaayo eri Sitaani balekere awo okuvumanga Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu abo ye Kumenayo ne Alegezanda: be nnawa eri Setaani, balyoke bayigirizibwe obutavumanga.