1 Timothy 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'amanyi nti etteeka teryateekebwawo lwa batuukirivu, wabula olw'ababi, n'abatawulira, n'abatatya Katonda, n'aboonoonyi, n'abatalina mpisa, n'aboonoonefu, n'abatemula bakitaabwe, n'abatemula bannyaabwe, n'abatta abantu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tusaanye tutegeere nga Amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo bamenyi baago na bajeemu, aboonoonyi, n’abatatya Katonda, n’abatali batukuvu, n’abagwenyufu, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n’abatta abantu abalala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'atutegeera kino nti, amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibi, abatali batukuvu n'abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b'abantu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tusaanye tutegeere nti amateeka tegaateekerwawo batuukirivu, wabula gaateekerwawo abo abagamenya n'abajeemu, aboonoonyi n'abatatya Katonda, abatali batuukirivu, n'abavvoola ebya Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, era n'abatta abantu abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'amanyi ekyo nti amateeka tegateekerwawo muntu mutuukirivu, wabula abatali batuukirivu n'abajeemu, abatatya Katonda n'abalina ebibi, abatali batukuvu n'abavvoola Katonda, abatta bakitaabwe ne bannyaabwe, abassi b'abantu,