1 Timothy 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ngeri ye emu, n'abakazi beewoomye mu nnyambala ensaamusaamu, ey'obuwombeefu, ey'ekintukiramu, si na nviiri nnyonde, ne zaabu, n'amalulu n'engoye ez'ebbeeyi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, na mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, wadde okwambala engoye ez'omuwendo ennyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo n'abakazi beeyonjenga mu byambalo ebisaana, n'okukwatibwa ensonyi n'okwegendereza; si mu kulanganga enviiri, ne zaabu oba luulu oba engoye ez'omuwendo omungi;