1 Timothy 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abakazi nabo babe ba kitiibwa, abatasala bigambo, wabula abamanyi okwefuga, nga beesigwa mu byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo n'abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, abeesigwa mu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abakazi bwe batyo, nabo basaana okuba abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo n'abakazi kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, abatawaayiriza, abatatamiira, abeesigwa mu byonna.