1 Timothy 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nti singa ndwawo okutuuka, omanye engeri omuntu gy'asaanye okuyisaamu mu maka ga Katonda, anti ye Ekleziya wa Katonda omulamu, empagi era omusingi eby'okukkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe ndwanga olyoke obe ng'omanyi bwe kigwana okukolanga mu nnyumba ya Katonda, ye kkanisa ya Katonda omulamu, empagi n'omusingi eby'amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bwe ndirwa, omanye bw'osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, kye kibiina ky'abakkiriza Katonda Nnannyinibulamu, empagi era omusingi gw'amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe ndwanga olyoke obe ng'omanyi bwe kigwana okukolanga mu nnyumba ya Katonda, ye kkanisa ya Katonda omulamu, empagi n'omusingi eby'amazima.