1 Timothy 3:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali kuwannaanya, ekyama ky'eddiini yaffe kikulu ddala, nti: Yayolekebwa mu mubiri, yakakasibwa obutuukirivu mu Mwoyo, yalabibwa bamalayika, yayigirizibwa mu mawanga, yakkirizibwa mu nsi, yalinnyisibwa mu kitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti: “Yalabisibwa mu mubiri, n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde, n’alabibwa bamalayika, n’alangibwa mu mawanga, n’akkirizibwa mu nsi, era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'akkirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewali kubuusabuusa, ekyama ky'eddiini yaffe kikulu ddala, ekigamba nti: “Yalabika nga muntu ddala, n'akakasibwa Mwoyo Mutuukirivu. Yalabibwa bamalayika, n'amanyisibwa mu mawanga. Yakkirizibwa ab'omu nsi, n'atwalibwa waggulu mu kitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era awatali kubuusabuusa ekyama eky'okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n'aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n'alabibwa bamalayika, n'abuulirwa mu mawanga, n'akkirizibwa mu nsi, n'atwalibwa mu kitiibwa.