1 Timothy 3:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulabirizi kyava ateekwa okuba nga taliiko kimuvunaanibwa, nga wa mukazi omu, amanyi okwefuga, muntumulamu, wa kitiibwa, ayaniriza abagenyi, asobola okuyigiriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, ayigiriza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulabirizi ateekwa okuba nga taliiko ky'anenyezebwamu. Ateekwa okuba n'omukazi omu yekka. Ateekwa okuba nga yeefuga, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng'amanyi okuyigiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale omulabirizi kimugwanira obutabangako kya kunenyezebwa, abeerenga musajja wa mukazi omu, atatamiira, mwegendereza, mukwata mpola, ayaniriza abagenyi,