1 Timothy 3:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ateekwa okuba ng'asobola okufuga amaka ge obulungi, abaana be ng'abakuuma nga bawulize, ba mpisa ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
afuga obulungi ennyumba ye ye, akuuma abaana be nga bawulize, era nga balina ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ateekwa okuba ng'afuga bulungi amaka ge, n'abaana be nga bawulize, era nga ba mpisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
afuga obulungi ennyumba ye ye, agonza abaana be mu kitiibwa kyonna;