1 Timothy 3:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga singa omuntu tasobola kufuga maka ge gennyini, anaasobola atya okulabirira Ekleziya wa Katonda?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuntu bw'atamanya kufuga nnyumba ye ye, ayinza atya okulabirira ekkanisa ya Katonda?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale omuntu atasobola kufuga maka ge, asobola atya okulabirira ekibiina ky'abakkiririza Katonda mu Kristo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(naye omuntu bw'atamanya kufuga nnyumba ye ye, ayinza atya okujjanjaba ekkanisa ya Katonda?)