1 Timothy 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yandibadde era ayogerwako bulungi ab'ebweru, sikulwa ng'afuuka ekivumo n'agwa mu mutego gwa Sitaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate kimugwanira okubeeranga n'okutegeezebwa okulungi eri abo ab'ebweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ateekwa okuba ng'assibwamu ekitiibwa abo abatali ba mu kibiina ky'abakkiriza Kristo, aleme kubaako ky'anenyezebwamu, era aleme kugwa mu mutego gwa Sitaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate kimugwanira okubeeranga n'okutegeezebwa okulungi eri abo ab'ebweru, alemenga okugwa mu kuvumibwa ne mu kyambika kya Setaani.