1 Timothy 3:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abadyakoni nabo bwe batyo, babe ba kitiibwa, si bannimibbirye, si banywi ba mwenge mungi, abatalulunkanira kufuna;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo n'abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatafugibwa mwenge, abatalulunkanira bintu olw'amagoba;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abadyakoni nabo basaana okuba abantu abassibwamu ekitiibwa, aboogera amazima, abatanywa mwenge mungi, era abatalulunkanira bya kufuna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo n'abaweereza kibagwanira okubeeranga abalimu ekitiibwa, si bannimibbirye, abatanywanga mwenge mungi, si beegombi ba bintu;