1 Timothy 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye tukolerera era kye tulafuubanira, kubanga essuubi lyaffe twalissa mu Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, naddala ow'abo abakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, okusinga w'abakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda Nnannyinibulamu Omulokozi w'abantu bonna, na ddala ow'abo abakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga twasuubira Katonda omulamu, Omulokozi w'abantu bonna, okusinga w'abakkiriza,