1 Timothy 4:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tokkirizanga n'omu kukunyooma olw'obuvubuka, wabula abakkiriza bawe ekyokulabirako mu kwogera, mu mpisa, mu kwagala, mu kukkiriza ne mu butukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kyakulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga, mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waleme kubaawo akunyooma olw'obuvubuka bwo, wabula mu kwogera ne mu mpisa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu butukuvu, beeranga kyakulabirako eri abakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna takunyoomanga lwa buvubuka bwo; naye beeranga kya kulabirako eri abo abakkiriza mu kwogeranga, mu kutambulanga: mu kwagalanga, mu kukkirizanga, mu kubanga omulongoofu.