1 Timothy 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagaana obufumbo ne balagira okulekayo ebika by'emmere Katonda gye yatondera abo abakkiriza era abamanyi amazima bagirye nga beebaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era ababagaana okulya ebyokulya ebimu, Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bawera okufumbiriganwanga era nga balagira okulekanga ebiriibwa, Katonda bye yatonda biriirwenga mu kwebaza abakkiriza ne bategeerera ddala amazima.