1 Timothy 4:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwo okutendeka omubiri kugasa, naye katono, naye byo eby'eddiini bigasa mu byonna, engeri gye birina kye bisuubiza mu bulamu buno ne mu bulamu obulijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga okwemanyiiza kw'omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa kaakano n'obw'obugenda okujja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga okwemanyiiza mu by'omubiri kugasa katono, naye okussaamu Katonda ekitiibwa kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery'omu bulamu buno, era n'ery'obwo obugenda okujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga okwemanyiiza kw'omubiri kugasa akaseera katono; naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw'obulamu obwa kaakano n'obw'obugenda okujja.