1 Timothy 5:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ateekwa okuba ng'amanyiddwa olw'ebikolwa bye ebirungi, nga yakuza bulungi abaana be, yayanirizanga abagenyi, yanaazanga ebigere by'abatuukirivu, yadduukiriranga abali mu bizibu, era nga yajjumbiranga buli mulimu mulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
asiimibwa mu bikolwa ebirungi; oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga ababonaabona, oba nga yagobereranga nnyo buli kikolwa ekirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnamwandu oyo ateekwa okuba nga yakolanga ebikolwa ebirungi: ng'okukuza obulungi abaana be, nga yayanirizanga abagenyi, nga yanaazanga ebigere by'abantu ba Katonda, nga yayambanga abali mu buzibu, era nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
asiimibwa mu bikolwa ebirungi oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yabeeranga ababonaabona, oba nga yagobereranga nnyo buli kikolwa ekirungi.