1 Timothy 5:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye tokkiriza bannamwandu bato, kubanga bwe balaluka ku Kristu, olwo baagala okuddamu okufumbirwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bannamwandu abakyali abato obagaanenga, kubanga bwe balikabawala eri Kristo, nga baagala okufumbirwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga kubawandiika mu lubu lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bannamwandu abakyali abato obagaanenga: kubanga bwe balikabawala eri Kristo, nga baagala okufumbirwa;