1 Timothy 5:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si ekyo kyokka, bayiga n'okulendera, ne bagenda nga babuna amayumba; tebakoma ku kulendera kyokka, naye bazunza n'eŋŋambo, ne beeyingiza mu bitabakwatako n'okwogera bye batandyogedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera n’ebitasaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ate bayiga okubeeranga abagayaavu, nga baatambulatambula okubuna amayumba; naye tebagayaala bugayaazi, era naye balina olugambo n'akajanja, nga boogera ebitasaana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ekirala, bayiga okwonoona ebiseera byabwe nga batambula okubuna amayumba. Si bagayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe, ne boogera n'ebitasaanira kwogera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ate bayiga okubeeranga abagayaavu, nga batambulatambula okubuna amayumba naye tebagayaala bugayaazi, naye balina olugambo n'akajanja nga boogera ebitasaana.