1 Timothy 5:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi omukkiriza bw'aba alina eŋŋanda ze bannamwandu, abalabirire, Ekleziya aleme kubinikibwa mugugu, wabula asobole okuyamba abo bannamwandu aba namaddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab’olulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omukazi yenna akkiriza bw'abanga ne bannamwandu, abayambenga, era ekkanisa eremenga okuzitoowererwa, eryoke eyambenga bannamwandu ddala ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab'olulyo lwe, ye aba abalabiriranga, ekibiina ky'abakkiriza Kristo kireme kuzitoowererwa, kiryoke kisobole okulabiriranga bannamwandu abataliiko abayamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omukazi yenna akkiriza bw’abanga ne bannamwandu, abayambenga, era ekkanisa eremenga okuzitoowererwa, eryoke eyambenga bannamwandu ddala ddala.