1 Timothy 5:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakadde abakulembera obulungi bagwanira ekitiibwa kya mirundi ebiri, naddala abo abakola okubuulira ekigambo n'okuyigiriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, naddala abo abafuba mu kubuulira ekigambo n'okuyigiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze b'abakkiriza, abafuga obulungi, basaanira empeera nnene, naddala abo abafaabiina mu kutegeeza n'okuyigiriza abantu ekigambo kya Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, okusinga abafuba mu kigambo n'okuyigiriza.