1 Timothy 5:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Ebiwandiiko ebitukuvu bigamba nti: “Ente ewuula eŋŋano, togisibanga mumwa,” era nti: “Omukozi asaanira empeera ye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti, “Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano.” Era nti, “Akola emirimu asaanira empeera ye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ente ng'ewuula eŋŋaano, togisibangako mumwa.” Era nti: “Omukozi asaanira empeera ye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekyawandiikibwa kyogera nti Tosibanga mumwa gwa nte ewuula eŋŋaano. Era nti Akola emirimu asaanira empeera ye.