1 Timothy 5:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibi by'abantu abamu birabikirawo, era bibakulembeddemu okubalaza ku kibonerezo, naye ebibi by'abalala birabika luvannyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango; era n'abalala birabika luvannyuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibi by'abantu abamu birabika mu lwatu, nga tebannasalirwa musango, kyokka eby'abalala birabika luvannyuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo abantu ebibi byabwe biba mu lwatu; nga bibakulembera okugenda mu musango; era n'abalala bibavaako nnyuma.