1 Timothy 5:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era bwe kityo n'ebikolwa ebirungi birabikirawo, naye ne bwe biba tebirabise, tebisobola kusigala nga byekisizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe kityo n'ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; bwe kitaba bwe kityo era tebirirema kwolesebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo, birabika mu lwatu. Ne bwe biba nga tebirabise mu lwatu, tebirirema kulabika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe kityo n'ebikolwa ebirungi biba mu lwatu; ne bwe kitaba bwe kityo tebirirema kwolesebwa.