1 Timothy 5:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamwandu bw'aba n'abaana oba abazzukulu, abaana basooke bayige obuvunaanyizibwa bwabwe obutukuvu ku maka gaabwe, baddizeewo bazadde baabwe, kubanga kino kisiimibwa mu maaso ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nnamwandu yenna bw'aba n'abaana oba bazzukulu, basookenga okuyiga okwegendereza eri ab'omu nnyumba zaabwe, n'okusasula bakadde baabwe, kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnamwandu bw'abanga n'abaana oba abazzukulu, basookenga okuyiga okutuukirizanga ebyo bye bateekwa okukolera ab'omu maka g'ewaabwe, bwe batyo babeeko kye basasula bakadde baabwe, kubanga ekyo kisanyusa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nnamwandu yenna bw'aba n'abaana oba bazzukulu basookenga okuyiga okwegendereza eri ab'omu nnyumba zaabwe, n'okusasula bakadde baabwe: kubanga ekyo kye kikkirizibwa mu maaso ga Katonda.