1 Timothy 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli bw'aba talabirira ŋŋanda ze, naddala ab'omu maka ge, okukkiriza aba akusudde eri, era mubi n'okusinga atakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye omuntu yenna bw'atajjanjaba babe, n'okusinga ab'omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka oyo atafa ku babe, naddala ab'omu nnyumba ye, aba yeegaanye okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu yenna bw'atajjanjaba babe n'okusinga ab'omu nnyumba ye nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.