1 Timothy 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna abali mu kikoligo ky'obuddu batwalenga bakama baabwe ng'abasaanidde okussibwamu ekitiibwa, erinnya lya Katonda n'enjigiriza yaffe bireme kuvumibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna abali mu kikoligo ky’obuddu, basaana okussaamu bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda, awamu n’okuyigiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abali mu kikoligo ky'obuddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo bonna abali mu kikoligo ky'obuddu, basaana okussaamu ennyo bakama baabwe ekitiibwa, erinnya lya Katonda era n'okukkiriza kwaffe bireme kuvvoolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abali mu bufuge abaddu balowoozenga bakama baabwe bennyini nga basaanidde ekitiibwa kyonna, erinnya lya Katonda n'okuyigiriza kwaffe biremenga okuvumibwa.