1 Timothy 6:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti okwagala ssente ye nsibuko y'obugwenyufu bwonna; era waliwo bangi olwa kino abawabye ne bava ku kukkiriza, ne beereetera okulumwa kungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okululunkanira ensimbi y’ensibuko y’ebibi byonna, era olw’okululunkana okwo abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna; waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga okululunkanira ensimbi, ye nsibuko y'ebibi byonna. Olw'okululunkana okwo, abamu bawabye, ne bava mu kukkiriza, ne beereetera obulumi bungi mu mitima gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okwagala ebintu kye kikolo ky'ebibi byonna: waliwo abantu abayaayaanira ebyo, ne bakyamizibwa okuva mu kukkiriza, ne beefumitira ddala n'ennaku ennyingi.