1 Timothy 6:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, ggwe omuntu wa Katonda, ebyo byonna bigaye; luubirira obutuukirivu, obulamu obusomi, okukkiriza, okwagala, obumalirivu n'obuteefu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebintu ebyo, ogobererenga obutuukirivu, n’okutya Katonda, n’okukkiriza, n’okwagala, n’okugumiikiriza, n’obuwombeefu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo, ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuwombeefu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe omuntu wa Katonda, weewalenga ebyo byonna, ogobererenga obutuukirivu, okussaamu Katonda ekitiibwa, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, n'obuteefu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe, omuntu wa Katonda, ddukanga ebyo,ogobererenga obutuukirivu, okutya Katonda, okukkiriza, okwagala, okugumiikiriza, obuwombeefu.