1 Timothy 6:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu maaso ga Katonda awa byonna obulamu, n'aga Kristu Yezu oyo eyajulira mu maaso ga Ponsiyo Pilato n'ayatula bulungi ddala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkukuutira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne mu maaso ga Kristo Yesu eyayatula okwatula okulungi mu maaso ga Pontiyo Piraato,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda awa byonna obulamu, n'aga Yesu Kristo eyayatulira ddala amazima mu maaso ga Pontiyo Pilaato,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nkukuutirira mu maaso ga Katonda, awa byonna obulamu, ne Kristo Yesu eyategeeza okwatula okulungi eri Pontio Piraato;