1 Timothy 6:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oyo yekka alina obutafa, asula mu kitangaala ekitasemberekeka, atalina muntu yali amulabye, wadde asobola kumulaba, ettendo libeere gy'ali n'obuyinza obw'emirembe n'emirembe, Amiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ye yekka atafa era atuula mu kwakaayakana okutasemberekeka, era tewali n’omu yali amulabye, so tewali asobola kumulaba, oyo aweebwe ekitiibwa, n’obuyinza obutaggwaawo, Amiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba, aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye yekka atafa era abeera mu kitangaala ekitasemberekeka, tewali yali amulabye, era tewali ayinza kumulaba. Ye weekitiibwa era ye w'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
alina obutafa yekka, atuula mu kutangaala okutasemberekeka; omuntu yenna gw'atalabangako, so siwali ayinza okumulaba: aweebwenga ekitiibwa n'obuyinza obutaggwaawo. Amiina.