1 Timothy 6:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate abo abagagga mu nsi eno, bagambe baleme kwekuza, baleme kussa ssuubi lyabwe ku bugagga obuteesigika, naye wabula ku Katonda atugabira buli kintu mu bungi tulyoke tusanyuke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuutirenga abagagga ab’omu mirembe gya kaakano, obuteekuluntaza, wadde okwesiga obugagga kubanga si bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna olw’okwesanyusanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Labula abagagga ab'oku nsi kuno, baleme kwegulumiza, wadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula beesige Katonda atuwa byonna ebitusanyusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuutirenga abagagga ab'omu mirembe gya kaakano obuteegulumizanga, newakubadde okwesiga obugagga obutali bwa lubeerera, wabula Katonda, atuwa byonna olw'obugagga tulyoke twesanyusenga n'ebyo;