1 Timothy 6:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe batyo beetuumire obugagga ng'omusingi omulungi olw'obulamu obulijja, basobole okwefunira obulamu obwa nnamaddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo beeterekere obugagga obw’engeri eyo nga gwe musingi omulungi ogw’ebiseera ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu bwennyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olwo banaabanga beeterekera eky'okunsinzirako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo beeterekere obugagga obulibagasa mu biseera ebirijja, ne bubafunyisa obulamu obwannamaddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga beeterekera eky'okuyimako ekirungi olw'ebiro ebigenda okujja, balyoke banywezenga obulamu ddala ddala.