1 Timothy 6:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalina bakama baabwe abakkiriza balemenga kubagaya olw'okwekwasa nti bonna ba luganda; wabula babaweereze bulungi n'okusingawo kubanga abo abaganyulwa mu kuweereza kwabwe bakkiriza era baagalwa. Yigiriza era kubiriza ebintu bino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaddu abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, okubanga baganda baabwe, wabula bonna bongere bwongezi okubaweereza, kubanga bakkiriza era baagalwa, era be bayambibwa olw’okuweereza kwabwe okulungi. Bino bibayigirizenga era obibakuutirenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abagasibwa mu kuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaddu abo abalina bakama baabwe abakkiriza, tebabanyoomanga olw'okuba baganda baabwe. Wabula beeyongere bweyongezi okubaweereza obulungi, kubanga abo abagasibwa olw'okuweereza kwabwe, bakkiriza era baagalwa. Ebyo bibayigirizenga era obibakuutirenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abalina bakama baabwe abakkiriza tebabanyoomanga, kubanga ba luganda; naye beeyongere okubaweerezanga, kubanga abassa ekimu mu kukolwa obulungi bakkiriza era baagalwa. Yigirizanga ebyo obibuulirirenga.