1 Timothy 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa oli ayigiriza ekirala n'atakkaanya na bigambo biramu ebya Mukama waffe Yezu Kristu n'enjigiriza egendana n'obulamu obw'eddiini,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna bw’ayigirizanga mu ngeri endala, nga takkiriziganya na bigambo ebya Mukama waffe Yesu Kristo ebireeta obulamu n’okugobereranga enjigiriza ey’okutya Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, era nga takkiriza bigambo bya bulamu, ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugoberera okutya Katonda;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu ayigiriza mu ngeri endala, nga takkiriziganya n'ebigambo ebituufu ebya Mukama waffe Yesu Kristo, n'enjigiriza etabagana n'okussaamu Katonda ekitiibwa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu yenna bw'ayigirizanga obulala, so nga takkiriza bigambo bya bulamu, bye bya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okuyigiriza okugobereranga okutya Katonda;