1 Timothy 6:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
aba mwekuza, atalina ky'amanyi; omuwakuzi w'endasano n'enkaayana ku bigambo; ekiva mu kino, buggya, mpaka, kuvumagana, kulowoozaŋŋanako bubi
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
aba ajjudde okwekuluntaza era aba taliiko ky’ategeera naye aba aguddemu akazoole ak’okubuzaabuza mu buli kintu, n’okuwakana ku buli kigambo n’ekivaamu bwe buggya, n’okuyomba, n’okuvuma, n’okuwaayira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambizi empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, n'okuwayiriza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
aba ajjudde akazoole k'okubuuzabuuza ku buli kintu n'okuwakana ku buli kigambo, ebivaamu obuggya, okuyomba, okuvuma, okuwaayira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga yeekulumbaza, nga taliiko ky'ategeera, wabula okukalambiza obukalambiza empaka n'entalo ez'ebigambo, omuva obuggya, okuyomba, okuvuma, okuteerera obubi,