1 Timothy 6:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga tetulina kye twaleeta mu nsi, era tetulina kye tuyinza kuggya mu nsi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetuliiko kye tuliggyamu nga tuvaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, era tetuyinza kuggyamu kintu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga tetulina kye twajja nakyo mu nsi, era tetulina kye tuliggyamu nga tugivaamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu;