1 Timothy 6:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abo abayaayaanira okugaggawala bagwa mu bikemo, mu mitego ne mu kwegomba kungi okutaliimu makulu era okw'akabenje, okubbika abantu mu kufaafaagana ne mu kuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu katego ak’okwegomba okw’obusirusiru era okw’akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo abaagala okugaggawala, bagwa mu kukemebwa, ne bakwatibwa okwegomba okungi okw'obusirusiru, era okw'akabi, okunnyika abantu mu kubula ne mu kuzikirira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n'okwegomba okungi okw'obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n'okuzikirira.