2 Chronicles 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mpa nno amagezi n'okutegeera, nsobole okubakulembera, anti ggwe ani asobola okulamula obulungi eggwanga lyo lino ekkulu liti?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ompe amagezi n’okumanya, ndyoke nkulembere abantu bano; kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino eddene bwe liti?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo mpa nno amagezi n'okumanya, nsobole okukulemberanga abantu bano bonna: kubanga ani ayinza okufuga abantu bo bano abenkanidde awo obungi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo, nkusaba ompe amagezi n'okumanya, nsobole okukulembera abantu bano. Kale ani ayinza okulamula eggwanga lino ekkulu bwe lityo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mpa nno amagezi n'okumanya, nfulumenga nnyingirenga mu maaso g'abantu bano: kubanga ani ayinza okusalira emisango abantu bo bano abenkanidde awo obukulu?