2 Chronicles 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'agamba Solomoni nti: “Kubanga kino omutima gwo kye gwegombye, n'otosaba bugagga na bintu na kitiibwa yadde okufa kw'abalabe bo, oba okuwangaala ebbanga eggwanvu, wabula n'osaba magezi na kutegeera osobole okulamula abantu bange be nkutaddeko obeere kabaka waalyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda n’addamu Sulemaani nti, “Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, n’otosaba bintu, oba obugagga, wadde ekitiibwa newaakubadde okuwangula abalabe bo, ate n’otosaba na buwangaazi, naye n’osaba amagezi n’okumanya osobole okufuga abantu bange, ggwe, nga kabaka waabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda n'agamba Sulemaani nti, “Ekyo kyosabye kirungi, so towesaabidde bugagga oba ebintu, wadde ekitiibwa, newakubadde okuzikiriza abo abakukyawa, so towesabidde kuwangaala, naye weesabidde amagezi n'okumanya, osobolenga okufuga abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda n'agamba Solomooni nti: “Ekyo ky'olowoozezza kirungi, obuteesabira bugagga oba ebintu, kitiibwa wadde okuzikiriza abalabe bo, era obuteesabira kuwangaala, naye n'osaba amagezi n'okumanya, osobolenga okulamula abantu bange, be nkuwadde obeere kabaka waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda n'agamba Sulemaani nti Kubanga ekyo kibadde mu mutima gwo, so tosabye bugagga, ebintu, newakubadde ekitiibwa, newakubadde obulamu bw'abo abakukyawa, so tosabye kuwangaala; naye weesabidde amagezi n'okumanya, osalirenga emisango abantu bange, be nkufuulidde kabaka: