2 Chronicles 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
amagezi n'okutegeera bijja kukuweebwa. Nzija kukuweerako obugagga, ebintu n'ekitiibwa, nga tewali n'omu mu bakabaka abaakukulembera yali nabyo, yadde mu balikuddirira aliba nabyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
amagezi n’okumanya bikuweereddwa. Era nzija kukuwa obugagga, n’ebintu, n’ekitiibwa, ebitenkana ebyo bakabaka abaakusooka bye baalina, wadde abalijja ng’ovuddewo, bye balifuna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa ebitabanga n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba n'oluvannyuma lwo mulala aliba nabyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale amagezi n'okumanya mbikuwadde. Era nja kukuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, ebitafunibwanga kabaka mulala mu baakusooka, era ebitalifunibwa mulala mu balikuddirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amagezi n'okumanya oweereddwa; era ndikuwa n'obugagga n'ebintu n'ekitiibwa by'atabanga nabyo n'omu ku bassekabaka abaakusooka, so tewaliba oluvannyuma lwo aliba nabyo.