2 Chronicles 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yakuŋŋaanya ebigaali n'embalaasi; yalina ebigaali lukumi mu ebikumi bina, n'embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri bye yakuumiranga mu bibuga by'ebigaali, n'ebimu ng'ali nabyo mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’akuŋŋaanya amagaali n’abeebagala embalaasi; n’aba n’amagaali lukumi mu bina, n’abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby’amagaali, ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi, n'aba n'amagaali lukumi mu bina (1,400) n'abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000), n'abateeka mu bibuga eby'amagaali ne mu Yerusaalemi gye yabeeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akuŋŋaanya amagaali lukumi mu bina n'abaserikale abeebagala embalaasi omutwalo gumu mu enkumi bbiri, n'abateeka mu bibuga ebirimu amagaali, ne mu Yerusaalemu, ye yennyini mwe yali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'akuŋŋaanya amagaali n'abeebagala embalaasi: era yalina amagaali lukumi mu bina n'abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri, be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi.