2 Chronicles 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embalaasi za Solomoni zaalagirizibwanga mu Misiri ne mu Kuwe; abasuubuzi ba kabaka baazisuubulanga mu Kuwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Embalaasi za Sulemaani zaasubulibwanga okuva e Misiri, era abasuubuzi ba kabaka be baazigulangayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri ne Kulikiya. Abasuubuzi bakabaka baazigulanga Kulikiya ng'ebbeeyi yaazo bwe yabanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embalaasi Solomooni ze yalina, baaziggyanga mu Misiri ne Kilikiya. Abasuubuzi, baazigulanga Kilikiya, ng'ebbeeyi yaazo bwe yali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era embalaasi Sulemaani ze yalina baaziggyanga mu Misiri; abasuubuzi ba kabaka ne baziweebwanga bisibo, buli kisibo n'omuwendo gwakyo.