2 Chronicles 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Misiri ekigaali baakigulangayo ku sekeli za ffeeza lukaaga, ate embalaasi ku sekeli kikumi mu ataano. Era baaziragiririzangayo bakabaka bonna ab'Abakitti n'Abaaramu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eggaali baagisuubulanga kilo musanvu eza ffeeza, embalaasi ne bagisuubulanga kilo emu ne desimoolo musanvu eza ffeeza okuva e Misiri. Ate era baazitunzanga ne bakabaka bonna ab’Abakiiti ne bakabaka ab’e Busuuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagaali baagaggyanga mu Misiri nga buli kigaali kigula sekeri lukaaga (600) eza ffeeza, ate embalaasi ng'egula sekeri kikumi mu ataano (150) eza ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga ne baziguza bakabaka b'Abakiiti n'Abasuuli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amagaali baagaggyanga mu Misiri, nga buli kigaali kigula ebitundu lukaaga ebya ffeeza, ate embalaasi ng'egula ebitundu kikumi mu ataano ebya ffeeza. Abasuubuzi baazireetanga, ne baziguza bakabaka b'Abahiiti n'ab'Abassiriya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eggaali baalikimanga nga baliggya mu Misiri nga lijjirira (sekeri) lukaaga eza ffeeza, n'embalaasi ng'ejjirira kikumi mu ataano; era bassekabaka bonna ab'Abakiiti bwe batyo ne bassekabaka ab'e Busuuli, baaziggyangamu mu mukono gwabwe.