2 Chronicles 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'ekibiina kyonna ne bagenda ku ekifo ekigulumivu mu Gibewoni, awaali Weema ya Katonda ey'Ensisinkano Musa omuweereza wa Katonda gye yakolera mu ddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’ekibiina kyonna ne bagenda e Gibyoni eyali ekifo ku lusozi awaali Eweema ya Katonda ey’Okukuŋŋaanirangamu, Musa omuweereza wa Mukama gye yakuba, eyo mu ddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna ekyo ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakolera mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agenda n'abantu abo bonna mu kifo ekigulumivu eky'e Gibiyoni, kubanga eyo ye waali Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, Musa omuweereza wa Mukama gye yakolera mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'ekibiina kyonna wamu naye ne bagenda mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni; kubanga eyo ye yali eweema ya Katonda ey'okusisinkanirangamu, Musa omuddu wa Mukama gye yakola mu ddungu.