2 Chronicles 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yo Ssanduuku y'Omukama, Dawudi yali agiggye e Kiriyati-Yewarimu ng'agitadde mu kifo kye yali amaze okugitegekera, ng'agisimbidde weema mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi yali aggye essanduuko ya Katonda okuva e Kiriyasuyalimu, n’agitwala e Yerusaalemi gye yali agitegekedde ng’agizimbidde eweema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye essanduuko ya Katonda yali mu Yerusaalemi ng'eteekedwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya e Kiriyasuyalimu kubanga yali agisimbidde eweema e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Essanduuko ey'Endagaano yali mu Yerusaalemu, ng'eteekeddwa mu Weema, Dawudi gye yagisimbira, bwe yagiggya mu Kiriyati Yeyariimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye essanduuko ya Katonda Dawudi yali agirinnyisizza n'agiggya e Kiriyasuyalimu n'agireeta mu kifo Dawudi kye yagitegekera: kubanga yali agikubidde eweema e Yerusaalemi.