2 Chronicles 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gwo omwaliiro ogw'ekikomo, Bezaleli mutabani wa Wuri mutabani wa Kuru gwe yali akoze, gwali Gibewoni mu maaso g'Ekisulo ky'Omukama; eyo Solomoni n'ekibiina kyonna gye beebuuliza ku Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’ekyoto eky’ekikomo Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yali azimbye, kyali eyo mu lusiisira lwa Mukama, ne Sulemaani n’ekibiina kyonna gye beebuulizanga ku Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleeri, mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama, n'ekibiina kyonna n'ekigendanga gye kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alutaari ey'ekikomo eyakolebwa Bezaleeli, mutabani wa Wuri, muzzukulu wa Huuri, nayo yali mu Gibiyoni, mu maaso ga Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate ekyoto eky'ekikomo Bezaaleri mutabani wa Uli mutabani wa Kuuli kye yakola kyali eyo mu maaso g'eweema ya Mukama: Sulemaani n'ekibiina ne bagendanga gye kiri.