2 Chronicles 1:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni n'ayambuka awaali omwaliiro gw'ekikomo mu maaso g'Omukama mu Weema ey'Ensisinkano, n'aweererezaako ebitambiro lukumi ebyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani n’ayambuka eri ekyoto eky’ekikomo n’alaga mu maaso ga Mukama mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’aweerayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'agenda eri ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga weema ya Mukama ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'asinza Mukama ng'awaayo ebitambiro bya nsolo lukumi, ezattibwa ne zookebwa ku alutaari eyo ey'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'ayambukayo eri ekyoto eky'ekikomo mu maaso ga Mukama ekyali ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'aweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa lukumi.