2 Chronicles 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze ekikoligo kyammwe ŋŋenda na kukyongerako obuzito. Kitange yababonerezanga na buswanyu, nze nzija kubabonerezanga na njaba.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitange yabakangavvulanga na nkoba naye nze nzija kubakangavvulanga na njaba ez’obusagwa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno oba kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze nnaakyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko, naye nze nnaabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno oba nga kitange yabassaako ekikoligo ekizito, nze nja kukyongerako obuzito. Kitange yabakangavvulanga na mbooko eyaabulijjo, naye nze nja kubakangavvulanga na mbooko eriko amalobo agasuna.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nno kubanga kitange yababinikanga ekikoligo ekizito, nze naayongeranga ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvulanga na nkoba, naye nze naabakangavvulanga na njaba ez'obusagwa.